Ecclesiastes 5

Mutye Katonda

1Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

2 aToyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
ng’ate ggwe oli ku nsi;
kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
3 bNg’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.
4 cBwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. 5 dObuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. 6Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? 7 eEbirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere

8 fBw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. 9Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.

10Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
na kino nakyo butaliimu.

11Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
okuggyako okusanyusa amaaso ge?

12 gOtulo tuwoomera omupakasi
ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
tebumuganya kwebaka.

Okukola n’Essanyu

13 hWaliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:

nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 iOmuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
16 jNa kino kya bulumi bwereere:

nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
18 kNe ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 lAte Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 20 mEmirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.

Copyright information for LugEEEE